Posts

Showing posts with the label NCS

Ttiimu y'Akabadi esimbudde, bagenze India mu za Common Wealth

Image
TTIIMU Y'AKABADI EGENZE INDIA MU ZA COMMON WEALTH  BYA JUMA ALI  Ttiimu y'eggwanga ey'omuzannyo gw'akabadi esimbudde okugenda mu ggwanga lya India okwetaba mu mpaka z'okunsunsulamu abanetaba mu za Common Wealth Championship. Ttiimu eno ey'abalenzi 14 n'abawala 14 yasibuddwa omukungu wa National Council of Sports, Milton Chebet ku Copper Chimney e Lugogo. Chebet ,yakwasiza bendera eri kapiteni w'abalenzi Douglas Mulalira wamu n'owa'abawala Olivia Nalubega. "Ndi musanyuffu okusibula ttiimu eno okugenda e India era mukole bulungi okuwa eggwanga lyaffe ekitibwa",Chebet bweyategeezezza banamawulire. Omukolo guno gwetabidwako abakungu okuva mu Uganda Olympic Committee. Omukungu okuva mu kibiina kya Kabaddi, Edgar Mujuni yategezeza nti ttiimu ebade etendekebwa bulungi era tusubire okukola obulungi. Ttiimu ya Kabaddi eyasimbudde okugenda mu India Ttiimu eyagenze mulimu; Abawala- Olivia Nalubega (kapiteni), Dorothy Nagawa,Nahia Nalwo...