MURUNGI KASSIM AKOLA BYAFAAYO* Yeepikira Olympics, kati ye No.1 mu Africa
MURUNGI KASSIM AKOLA BYAFAAYO * Yeepikira Olympics, kati ye No.1 mu Africa BYA JUMA ALI Omukubi w'ebikonde ku ttiimu y'eggwanga eya Bombers, Murungi Kassim akola byafaayo mu muzannyo gw'ebikonde. Murungi, azanya mu buzito bwa feather weight (kilo 57) wabula bweyagenze e Kenya mu mpaka za African Elite men and Women Championship, yazanye mu buzito bwa light weight (kilo 60) era yabakubye bonna okuwangula omudaali gwa zaabu (Gold) era n'afuuka nnamba emu mu Africa mu buzito obwo. Murungi,yali asembye okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za Zone 3 e Kenya omwaka oguwedde. "Allah w'amaanyi nakino kiwede kati ntunuulira Olympics", bwatyo Murungi bweyategeezezza. Murungi mulungi mu miguwa Murungi,eyakawangula omusiimpi gwa Champions League emirundi esatu egy'omudiriŋŋana nga atunuulidde okuwangula omulundi ogw'okuna. Murungi nga mukubi wa kiraabu ya East Coast era ye y'abadde omumyuka wa kapiteni wa Bombers ku ttii...