Posts

Showing posts with the label WBA

NANZIRI YEETEGEKERA KUWANGULA MUSIPI GWA 'WBA': Aweze okuwuttula omukazi Omutanzania e Kenya!

Image
NANZIRI YEETEGEKERA KUWANGULA MUSIPI GWA 'WBA': Aweze okuwuttula Omutanzania e Kenya! * Engeri gy'azze akubamu bakazi banne nga tabasaasira BYA JUMA ALI  Omukyala omukubi w'ebikonde by'ensimbi Catherine Nanziri ,ayingidde enkambi okusobola kwetegekera omusipi gw'ensi yonna ogwa World Boxing Association (WBA). Nanziri, ow'emyaka 27 yeetegekera kuzanya Omutanzania, Halima Vunjabei nga 28, November 2026 e Kenya mu kibuga Nairobi ku Edge Convention Center. Ku lulwana lwa Nanziri, kugenda kubaako enwana endala munaana ez'emisipi. Eno egenda kuba fayiti ya 10 ey'ensimbi eya Nanziri ate egenda kukuba fayiti ya 36 eya Halima era yasembayo okukubwa munnansi wa Pakistan,Laura Akram ku musipi gwa UBO mu mwezi gwa July. Nanziri ne Halima bagenda kulwanira omusipi gwa WBA mu buzito bwa Super bantam. Frank Lulinda owa FOB ne Catherine Nanziri Nanziri, yasembayo okuzanya mu mwezi gwa July ng'akuba munansi wa Tanzania, Husnah Zamba ng'awangula om...