EŋŋUUMI ENYOOKA E CONGO, TTIIMU YA UGANDA ETANDISE BULUNGI *Batunuulidde kuleeta ssente za ddoola
EŋŋUUMI ENYOOKA E CONGO, TTIIMU YA UGANDA ETANDISE BULUNGI * Batunuulidde kuleeta ssente za ddoola BYA JUMA ALI Ttiimu ya Uganda ey'omuzannyo gw'ebikonde ey'abakubi 9 wamu n'abatendesi babiri eyagenda e Kinshasha mu Democratic Republic of Congo (Zaire) okwetaba mu mpaka ezisinga mu Semazinga wa Africa eza African Boxing Elite male and female Championship. Abakubi abana abaasoose mu miguwa, babiri bawangudde okugenda ku kwota fayinolo okuli Musuuza Hasan azanya mu buzito bwa light weight ne Sadiq Lukwago azannya mu buzito bwa welter weight ate Yiga Aaron azanya mu buzito bwa light fly ne Nyanzi Muhamed azanya mu buzito bwa feather weight baakubiddwa. Sadiq Lukwago ne Musuuza Hasan kati beegasse ku bannaabwe abali ku kwota fayinolo okuli Musis John ali mu buzito bwa bantam weight ne Nsamba Ronald ate ye Wandera Ronnie ali mu cruiser weight, Laker Sarah ali mu light weight ne Ebong Emmy ali mu light heavy bali ku semi fayinolo era wadde baakubiddwa baakufuna ...