BOGERE ANOONYA KUKOLA BYAFAAYO MU Z'AMASAZA: Abakunja b'e Kyaggwe banaakunja Gomba?
BOGERE ANOONYA KUKOLA BYAFAAYO MU Z'AMASAZA: Abakunja b'e Kyaggwe banaakunja Gomba? Bogere Bogere anoonya kukola byafaayo Lwamukaaga ,31 November Fayinolo za Masaza Kyaggwe vs Gomba -10:00 Ekifo eky'okusatu Bugerere vs Butambala -6:00 BYA JUMA ALI Fayinolo ey'omupiira gwa Masaza yaakubeerawo nga 31, November ku Lwomukaaga mu kisaawe e Wankulukuku wakati wa batabani ba Ssekiboobo ab'e Kyaggwe abatakunja miti, ne batabani ba Kitunzi ab'e Gomba . Ekikopo ky'Amasaza ekisinga obuganzi n'ettutumu mu Buganda ne Uganda okutwaliza awamu Wabula wagenda kisookawo omupiira ogw'okulwanira ekifo eky'okusatu wakati w'Essaza lya Bugerere eritendekebwa omutendesi Steven Bogere ne Ssaza lya Butambala. Omutendesi wa Bugerere, Steven Bogere ayolekedde okukola ebyafaayo mu mupiira gwa Masaza ng'omutendesi asoose okuwangula fayinolo bbiri, okukubwa fayinolo emu wamu n'okukwata ekifo eky'okusatu. Bogere, yawangulir...