BOGERE ANOONYA KUKOLA BYAFAAYO MU Z'AMASAZA: Abakunja b'e Kyaggwe banaakunja Gomba?


BOGERE ANOONYA KUKOLA BYAFAAYO MU Z'AMASAZA: Abakunja b'e Kyaggwe banaakunja Gomba?
Bogere
Bogere anoonya kukola byafaayo

Lwamukaaga ,31 November 
Fayinolo za Masaza 
Kyaggwe vs Gomba -10:00
Ekifo eky'okusatu
Bugerere vs Butambala -6:00

BYA JUMA ALI 


Fayinolo ey'omupiira gwa Masaza yaakubeerawo nga 31, November ku Lwomukaaga mu kisaawe e Wankulukuku wakati wa batabani ba Ssekiboobo ab'e Kyaggwe abatakunja miti, ne batabani ba Kitunzi ab'e Gomba .

Ekikopo ky'Amasaza ekisinga obuganzi n'ettutumu mu Buganda ne Uganda okutwaliza awamu


Wabula wagenda kisookawo omupiira ogw'okulwanira ekifo eky'okusatu wakati w'Essaza lya Bugerere eritendekebwa omutendesi Steven Bogere ne Ssaza lya Butambala.
Omutendesi wa Bugerere, Steven Bogere ayolekedde okukola ebyafaayo mu mupiira gwa Masaza ng'omutendesi asoose okuwangula fayinolo bbiri, okukubwa fayinolo emu wamu n'okukwata ekifo eky'okusatu.
Bogere, yawangulira Buddu ebikopo bibiri, n'akubwa ku fayinolo emu nga kati ayagala kuwangulira Essaza lya Butambala omudaali gw'ekikomo.
Bogere ,yaleetebwa Essaza lya Bugerere oluvanyuma lw'okutandika bubi era n'abayamba okukola obulungi n'asobola okubaggya mu kibinja.
Bogere ,atendeseeko Amasaza okuli Buddu, Bugerere ne Mawokota.
Kino kye kikopo Amasaza gonna 18 gekiwakanira

Comments

Popular posts from this blog

Danielle Nalukenge: Word per word witness statement by Judiciary's girl Danielle Nalukenge that led to Mabirizi arrest

I have moved to the East African Court of Justice to declare 📜 Uganda's LC1 elections 2026 NULL & VOID

Male Mabirizi APPLICATION challenging UNLAWFUL DRILLING has been scheduled for 27th Nov at Kanyanya Court.