Posts

Showing posts with the label Opinion

SINGIZA SSINGA ALEKULIRA NETUWONA OKUSWALA!: Lwaki kyabadde kikyamu omulamuzi Singiza okuwagira Muhoozi mu lujjudde (OPINION)

Image
SINGIZA SSINGA ALEKULIRA NETUWONA OKUSWALA!: Lwaki kyabadde kikyamu omulamuzi Singiza okuwagira Muhoozi mu lujjudde EKY'AMAZIMA n'omwana eyaakava ku mabeere ga nnyina, akirabirawo nti kyabadde kikyamu eky'omulamuzi Douglas Singiza okwesitula n'atindigga eggendo n'agenda e Naguru awasangibwa ekitebe kya Patriotic League of Uganda (PLU), ekikulemberwa Muhoozi Kainerugaba. Omulamuzi Singiza ng'ono yaakulira olukiiko olufuga, okulonda n'okukangavvula abalamuzi olumanyiddwa nga Judicial Service Commission (JSC)... SINGIZA WATUSWAZIZZA NYO Singiza teyakomye kugenda bugenzi oba kye wandigambye nti yawunyizzaayo buwunya, wabula ono yasiisidde era bwebeera mboozi yagudde amakerenda!! Singiza yafunyeeyo akadde n'akwata peeni n'awandiika erinnya lye, ekitiibwa kye n'alaga nti awagira Muhoozi byonna bye babala omuli n'okusikira kitaawe Yoweri Tibuhaburwa Museveni ku bwa pulezidenti (jooli nti buno Bwakabaka, naye emboozi eyo tuliginyumya olulala). OMULAM...