MURUNGI KASSIM AKOLA BYAFAAYO* Yeepikira Olympics, kati ye No.1 mu Africa

MURUNGI KASSIM AKOLA BYAFAAYO
* Yeepikira Olympics, kati ye No.1 mu Africa





BYA JUMA ALI 
Omukubi w'ebikonde ku ttiimu y'eggwanga eya Bombers, Murungi Kassim akola byafaayo mu muzannyo gw'ebikonde.
Murungi, azanya mu buzito bwa feather weight (kilo 57) wabula bweyagenze e Kenya mu mpaka za African Elite men and Women Championship, yazanye mu buzito bwa light weight (kilo 60) era yabakubye bonna okuwangula omudaali gwa zaabu (Gold) era n'afuuka nnamba emu mu Africa mu buzito obwo.

Murungi,yali asembye okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za Zone 3 e Kenya omwaka oguwedde.
"Allah w'amaanyi nakino kiwede kati ntunuulira Olympics", bwatyo Murungi bweyategeezezza.
Murungi mulungi mu miguwa


Murungi,eyakawangula omusiimpi gwa Champions League emirundi esatu egy'omudiriŋŋana nga atunuulidde okuwangula omulundi ogw'okuna.
Murungi nga mukubi wa kiraabu ya East Coast era ye y'abadde omumyuka wa kapiteni wa Bombers ku ttiimu eyabadde mu mpaka za African Boxing Elite men and women championship ezibadde e Kenya.

Comments

Popular posts from this blog

Danielle Nalukenge: Word per word witness statement by Judiciary's girl Danielle Nalukenge that led to Mabirizi arrest

I have moved to the East African Court of Justice to declare 📜 Uganda's LC1 elections 2026 NULL & VOID

Male Mabirizi APPLICATION challenging UNLAWFUL DRILLING has been scheduled for 27th Nov at Kanyanya Court.