Ttiimu y'Akabadi esimbudde, bagenze India mu za Common Wealth

TTIIMU Y'AKABADI EGENZE INDIA MU ZA COMMON WEALTH 

BYA JUMA ALI 


Ttiimu y'eggwanga ey'omuzannyo gw'akabadi esimbudde okugenda mu ggwanga lya India okwetaba mu mpaka z'okunsunsulamu abanetaba mu za Common Wealth Championship.
Ttiimu eno ey'abalenzi 14 n'abawala 14 yasibuddwa omukungu wa National Council of Sports, Milton Chebet ku Copper Chimney e Lugogo.
Chebet ,yakwasiza bendera eri kapiteni w'abalenzi Douglas Mulalira wamu n'owa'abawala Olivia Nalubega.
"Ndi musanyuffu okusibula ttiimu eno okugenda e India era mukole bulungi okuwa eggwanga lyaffe ekitibwa",Chebet bweyategeezezza banamawulire.
Omukolo guno gwetabidwako abakungu okuva mu Uganda Olympic Committee.
Omukungu okuva mu kibiina kya Kabaddi, Edgar Mujuni yategezeza nti ttiimu ebade etendekebwa bulungi era tusubire okukola obulungi.

Ttiimu ya Kabaddi eyasimbudde okugenda mu India

Ttiimu eyagenze mulimu;
Abawala-
Olivia Nalubega (kapiteni), Dorothy Nagawa,Nahia Nalwoga,Jemima Zalwango,Shirat Nakayongo, Muhamed Botul,Ademum Kolostika, Beatrice Namataka,Jesca Nayiga,Faustine Nabasa, Catherine Nabowa, Salim Namuleme Walda, Cathy Nabwegamo ne Sandra Mbatudde.
Abalenzi-
Douglas Mulalira (kapiteni),Jimmy Ssengendo,Frank Kamoga,Mubrak Wandeka, Stanley Gombe,Mark Carnol Okiddi, Innocent Ngabirano, Derrick Ibanda,Gasta Tenywa,Rayan Wanyaka,Simon Mutebi ne Valentino Semujju.
Omuzannyo guno, gwefaananyiriza akawuna!

Comments

Popular posts from this blog

Danielle Nalukenge: Word per word witness statement by Judiciary's girl Danielle Nalukenge that led to Mabirizi arrest

I have moved to the East African Court of Justice to declare 📜 Uganda's LC1 elections 2026 NULL & VOID

Male Mabirizi APPLICATION challenging UNLAWFUL DRILLING has been scheduled for 27th Nov at Kanyanya Court.